Herman Basudde
BYEMULINNANGA.
19/05/2026
Olwa leero giweze emyaka 29 kasokedde omuyimbi wa Kadongokamu Omugenzi "Livingston Kasozi" ava mubulamu bw’ensi eno.
"Livingston Kasozi" yaziikibwa Masaka mu Buddu ku kyaalo " Kyabbogo" nga Kasozi ono yayatikirira nnyo mu bibiina bya Kadongokamu okuli Lukwata Guitar Singers ne Kabuladda Professional Singer.
"Kasozi Livingston” yafiira mu ddwaliro lya " Valley Clinic" nga lino lyaali awo ku Busabala Road ku luguudo oludda Enttebe, awo waaliwo Doctor we era ng’ono yeyali atera okujanjjaba abayimbi ebiseera ebyo era omwami ono Doctor Mutyaba yeyali ne Doctor wa Herman Basudde omutongole era nga Basudde Naye bamujanjjabira awo.
Kijjukire, nti ne Herman Basudde okufuna akabenje ( accident ) ng’ava ekassanda mukitundu webayita emyanzi. Olwafuluma mu Mmotoka n’alinnya taxi ezidda ekampala ezikeera nnyo yaddukira wa Doctor Mutyaba owa Valley Clinic ku Busabala Road awo okufuna obujanjjabi, wadde nawo yaddukawo ng’amaze okufuna obujanjjabi obusokerwaako, Doctor agenda okudda ng’omukulu yayiseemu dda.
"Livingston Kasozi” yaleka abaana 2 abamanyiddwa wadde nga waliwo abalala ababegattako era family nebakkiriza era nga kino ne Kasozi mwennyini yakyogerako nti asuubira okubaawo Omwana ajja oluvannyuma.
“ Livingston Kasozi " ajjukirwa nnyo nnyo nnyo okubeera ow’enkizo mukuzannya mu nnyimba za Herman Basudde okuli Abakyala Okwekolera , Bus Dunia Part 1, Ekyali Mu Ssabo. Nga muluyimba Ekyali Mu Ssabo “ Livingston Kasozi “ yeyazannyanga nga Jajja ku stage mu bivvulu byonna, nga yakyuusa amaloboozi.
Lunaku lumu, Livingston Kasozi yali agenda kusala nviiri awo muka town ka “Nyendo” , jjukira awo waaliwo omwami Kibirige ng’ono yeyali atera okubasala enviiri bwebabeera nga emasaka yene Basudde, era ng’awo wewali n’omwami eyatunga nga ezimu kungoye zaabwe zebambala, Basudde yali atambudde ne Mutabani we Frank Sserunjoji, batuuka mu salon Kasozi agaba amateeka mu salon, agamba kinyoozi nti Omwana oyo nze ndagira enviiri ezigenda okumusalibwa leero, era musale “Backbush” ng’ezange oba sikyeekyo muleke, era akaseera ako kennyini Machine esala enviiri omukulu Kasozi n’ajiwamba.
Era Basudde yalaba guli gutyo nakkiriza nga tewali kyakkola mutabani we Frank Sserunjoji n’asalibwa enviiri za “Backbush” olunaku olwo ng’anti omukulu salon ajiwambye 😂😂.
Livingston Kasozi teyafuna mangu baana eranga yafuna okusomoozebwa kw’amaanyi, era mukibiina mwebaali Muwalimu abaana abato 2, Okuli “ Kapalaga “ Mutabani wa mwami sereste Kasule ne Frank Sserunjoji owa Herman Basudde, nga Kasozi Talina Kati nga bambi naye ayagala nnyo afune ku love y’abaana naye ng’atebamuganya.
Jjukira era Basudde yamulemesaako okutuuma Omwana we amannya nga wano Kasozi yali ayagala Basudde Omwana we gw’asoose Okuzaala ekampala amutuume mannyage aga Livingston, ekyo Basudde n’akigaana era ng’amugamba mukyalo navaayo bwoomu Kati bwemba nfunye musajja Munna ekampala nina omutuuma GGYANGENDA amalala Maama wange amutuume. Era Bambi Kasozi ne kimuluma nnyo.
Kale n’ebirala bingi ebijjukirwa ku mukwano gw’abangi ono Kasozi era mukama amuwe ekiwummulo eky’emirembe.
Click here to claim your Sponsored Listing.
Category
Contact the public figure
Telephone
Website
Address
Kampala